Jeremiah 31:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, oyo assaawo enjuba eyake emisana, omwezi n'emmunyeenye n'abiragira bimulise ekiro; asiikuula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; erinnya lye ye Mukama w'Amagye:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Oyo ateekawo enjuba okwaka emisana, n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma; Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yassaawo enjuba eyakenga emisana. Yalagira omwezi n'emmunyeenye byakenga ekiro. Afuukuula ennyanja, amayengo gaayo ne gayira. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti