Jeremiah 31:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Amateeka gano bwe galivaawo mu maaso gange Omukama y'agamba, olwo n'ezzadde lya Yisirayeli lwe liriggwa ne likoma okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Amateeka gano nga bwe gavudde mu maaso gange, n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Singa ebiragiro bino eby'enkalakalira biva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirirekerawo okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yasuubiza nti entereeza eyo, ng'ekyali bw'etyo mu maaso ge, n'ezzadde lya Yisirayeli liriba ggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebiragiro bino bwe biriva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirireka okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.