Jeremiah 31:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olubaale waggulu awo bwe lulisobola okupimibwa, n'omwaliiro gw'ensi ne gufeffettebwa wansi eyo, olwo nange ndisuula eri ezzadde lya Yisirayeli lyonna olwa byonna bye baakola,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa, olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri olw’ebyo bye bakoze,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwe kiriyinzika okupima eggulu n'okuzuula emisingi gy'ensi, olwo ne Mukama lw'aliyinza okusuula Abayisirayeli bonna olwa byonna bye baakola. Mukama ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.