Jeremiah 31:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “ekibuga kino lwe kiriddamu okuzimbirwa Omukama, okuva ku Munaala gwa Kananeli okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ekibuga Yerusaalemu lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Anameli, okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda.