Jeremiah 31:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olukoba olupima luliva awo butereevu okutuuka ku ntikko za Garebu, ate ne ludda ku Gowa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omugwa ogugera gulireegebwa butereevu okuva eyo okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo yaakyo n'eva awo n'egenda okutuuka ku kasozi Garebu, ate n'ekyuka okudda ku Gowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oliboolyawo omugwa ogugera ne gufuluma nga guttulukuse okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa.