Jeremiah 31:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikuzimba buto; ddala oliddamu okuzimbibwa, ayi Embeerera Yisirayeli; oliddamu okwambalira obugoma bwo, n'ogenda okuzina n'abayimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikuzimba nate, era olizimbibwa, ggwe Omuwala Isirayiri. Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo ofulume ozine n’abo abasanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri, olyambalira nate ebitaasa byo, olifuluma nga muzina era nga musanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiddamu okubazimba, ne muzzibwa buggya. Mulyambalira ebivuga byammwe, ne muzina nga musanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri: oliyonjebwa nate n'ebitaasa byo, era olifuluma mu kuzina ku abo abasanyuka.