Jeremiah 31:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekiwonvu kyonna eky'emirambo n'evvu ly'amasavu, ensalosalo zonna okutuukira ddala ku kagga Kiduroni, n'okudda ebugwanjuba okutuuka ku mulyango gw'Embalaasi waliyitibwa watukuvu ku lw'Omukama; ekibuga tekirisimbulwa oba okuddamu okuzikirizibwa emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekiwonvu kyonna, eky'emirambo n'ekyevvu, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, n'okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama. Ekibuga ekyo tekirisimbulwa nate so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiwonvu kyonna, abafu mwe baziikibwa, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kedurooni, n'okutuuka ku nsonda y'Omulyango gw'Embalaasi, okwolekera ebuvanjuba, biriwongerwa Nze Mukama. Ekibuga ekyo tekiriddayo kumenyebwa, wadde okuzikirizibwa ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekiwonvu kyonna eky'emirambo n'eky'evvu n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama: so tekirisimbulwa so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.