Jeremiah 31:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lulituuka abakuumi lwe balikoowoolera ku nsozi za Efurayimu nti: ‘Musituke, twambuke ku Siyoni eri Omukama Katonda waffe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Walibeerawo olunaku abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti, ‘Mujje, tugende ku Sayuuni, eri Mukama Katonda waffe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikoowoola nti, ‘Musituke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ekiseera kirituuka, abakuumi b'oku nsozi lwe balikoowoolera ku busozi bwa Efurayimu nti: ‘Twambuke e Siyooni eri Mukama Katonda waffe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikaaba nti Mugolokoke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.