Jeremiah 31:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Muyimbire waggulu n'essanyu olwa Yakobo, mumukubire emizira oyo omutwe gw'amawanga. Mulangirire, muyimbe, mugambe nti: ‘Ayi Mukama, lokola abantu bo, kaawonawo wa Yisirayeli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.” Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti, “Ayi Mukama, lokola abantu bo, abaasigalawo ku Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muyimbe n'essanyu olwa Yakobo, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga, mulange, mutendereze, mwogere nti, ‘Mukama alokodde abantu be, aba Isiraeri abawonyeewo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Muyimbire Yisirayeli n'essanyu. Mumukubire emizira, akulira amawanga gonna. Muyimbe nga mukungiriza nti: ‘Mukama alokodde abantu be, Abayisirayeli abawonyeewo!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muyimbe olwa Yakobo n'essanyu, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga: mulange, mutendereze, mwogere nti Ai Mukama, lokola abantu bo abafisseewo ku Isiraeri.