Jeremiah 31:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubaggya mu nsi ey'emambuka, mbakuŋŋaanye okuva ewala ku nkingi z'ensi. Mwe muliba bamuzibe n'abalema, ab'embuto n'abatuuse okuzaala; ekibiina kinene eky'abalikomawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi. Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema, n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala, era abantu bangi balikomawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi, era awamu nabo omuzibe w'amaaso, n'awenyera, omukazi ali olubuto, n'oyo alumwa okuzaala, balikomawo wano ekibiina kinene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibaggya mu bukiikakkono, ndibakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi. Mu bo mulijjiramu bamuzibe n'abalema, abakazi abali embuto, n'abanaatera okuzaala. Ndibakomyawo wano mu kibiina kinene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiika obwa kkono, ne mbakuŋŋaanya okuva mu njuyi z'ensi ezikomererayo, era wamu nabo omuzibe w'amaaso n'awenyera, omukazi ali olubuto n'oyo alumwa okuzaala wamu: balikomawo wano ekibiina kinene.