Jeremiah 31:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balidda nga bakaaba, ndibazza nga bawanjaga; ndibayisa ku migga egy'amazzi, mu kkubo esseeteevu mwe batalyesittalira. Kubanga ndi kitaawe wa Yisirayeli, ate Efurayimu ye muggulanda wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikomawo nga bakaaba, balisaba nga mbakomyawo. Ndibakulembera ku mabbali g’emigga, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri, era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira; ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira, kubanga ndi kitaawe wa Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange balidda nga bakaaba amaziga, ndibazza nga beegayirira. Ndibayisa ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu, mwe batalyesittala, kubanga ndi kitaawe wa Yisirayeli, ne Efurayimu ye muggulanda wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira: ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittala: kubanga ndi kitaawe eri Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.