Jeremiah 32:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama, mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Zedekiya kabaka wa Yuda, gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadurezzari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi (10) nga Zeddekiya ye kabaka wa Yuda, era gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) nga Nebukadduneeza ye kabaka we Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ayogera nange mu mwaka ogw'ekkumi nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, era nga gwe mwaka ogw'ekkumi n'omunaana, nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadduleeza.