Jeremiah 32:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ntwala endagaano ensibe ey'obuguzi omwali byonna ebikkaanyiziddwako, n'endala eyali ekoppoloddwako etaali nsibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntwala ekiwandiiko ekimpa obwannannyini ekirimu enkola era n’ebisuubirwa okugobererwa, era ne kkopi ey’olwatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkwata endagaano y'obuguzi nga nsibe, ng'etteeka n'empisa bwe biri, ne ndala nga si nsibe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nkwata endagaano y'obuguzi nga nsibe, ne kopi yaayo nga si nsibe, ng'etteeka n'empisa bwe biri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntoola ekiwanduke eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero ng'etteeka n'empisa bwe biri, era n'ekyo ekitaali kisibe: