Jeremiah 32:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endagaano y'obuguzi ne ngikwasa Baruku mutabani wa Neriya, mutabani wa Makuseeya, mu maaso ga Kanameli omwana wa kojjange n'ag'abajulirwa abassa omukono ku ndagaano yaffe ey'obuguzi, n'ag'Abayudaaya bonna abaali mu luggya lw'abakuumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpa Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya ekiwandiiko ky’obwannannyini, Kanameri omwana wa kojjange nga waali n’abajulirwa nga weebali abaateeka emikono ku kiwandiiko eky’obwannannyini n’Abayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lw’omukuumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mpaayo endagaano y'obuguzi eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali, n'abajjulizi nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku ndagaano y'okugula, mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mbikwasa Baruku, mutabani wa Neriya era muzzukulu wa Naseya. Nabimukwasa nga waliwo Anameli n'abajulizi bonna abassa emikono gyabwe ku ndagaano eyo, era nga waliwo Abayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lw'olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mpaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali n'abajulirwa nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku kiwandiike eky'okugula mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa.