Jeremiah 32:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Kwata ebiwandiiko bino, endagaano eno ey'obuguzi ensibe n'eno eteri nsibe, obiteeke mu nsumbi ey'ebbumba mwe bisobola okumala ebbanga eggwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Twala ebiwandiiko bino byombi, ekisibeko envumbo n’ekitali kisibeko obiteeke mu nsumbi ey’ebbumba bisobole okulwawo ebbanga gwanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Twala endagaano zino, endagaano ey'obuguzi ensibe, n'eteri nsibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; zisobole okukuumibwa ebbanga eggwanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli akulagidde okutwala endagaano zino: endagaano eyo ey'obuguzi ensibe, ne kopi eteri nsibe, ozitereke mu kintu ekibumbe, zisobole okukuumibwa emyaka mingi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ddira ebiwandiike bino, ekiwandiiko kino eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero era n'ekiwandiike kino ekitali kisibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; bimale ennaku nnyingi.