Jeremiah 32:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: Amayumba, ennimiro n'emizabbibu bijja kuddamu okugulibwa mu nsi muno.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye Katonda wa Isirayiri nti, Ennyumba, n’ebibanja n’ennimiro ez’emizabbibu biriddamu okugulibwa mu nsi eno.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu ne biddamu nate okugulibwa mu nsi eno.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agambye nti amayumba, n'ebibanja, n'ennimiro z'emizabbibu, biriddamu okugulibwanga mu nsi eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n’ensuku ez'emizabbibu ne bigulirwa nate mu nsi eno.