Jeremiah 32:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yii! Ayi Mukama, Katonda, watonda eggulu n'ensi n'omukono gwo omugolole, n'omukono gwo ogw'amaanyi; tewali kikulema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Mukama Katonda, watonda eggulu n'ensi ng'okozesa obuyinza bwo obungi n'amaanyi go. Tewali kikulema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema: