Jeremiah 32:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogirira ekisa enkumi n'enkumi, emisango gya bakitaabwe n'ogiwoolera ku baana baabwe ababaddirira. Ayi Katonda omukulu, ow'obuyinza, erinnya lyo ggwe Mukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olaga okwagala kwo eri enkumi n’enkumi ate oleeta ekibonerezo ky’ebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda ow’ekitalo era ow’amaanyi, ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olaga abantu enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo. Ayi Katonda omukulu era ow'amaanyi, Mukama w'eggye lye linnya lye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olaga abantu enkumi n'enkumi ekisa, naye n'obonereza abaana olw'ebibi by'abazadde baabwe. Ayi Katonda, oli mukulu era wa maanyi. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
akola enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo; Katonda omukulu ow'amaanyi, Mukama ow'eggye lye linnya lye: