Jeremiah 32:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli mukulu mu nnamula yo; oli wa buyinza mu by'okola. Amaaso go gatunuulidde abantu nga bwe beeyisa, buli omu n'omuddiza ng'olabira ku makubo ge n'ebyo ebiva mu bikolwa bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebigendererwa byo nga binene era n’ebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna ag’abantu, osasula buli muntu ng’enneeyisa ye bweri era ng’ebikolwa bye bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omukulu mu kuteesa era ow'amaanyi mu bikolwa; amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
By'oteesa bikulu, era by'okola bya maanyi. Olaba buli kimu, abantu kye bakola, era n'obawa empeera okusinziira ku bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omukulu mu kuteesa: era ow'amaanyi mu kukola emirimu: amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri: