Jeremiah 32:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo eggye lya kabaka w'e Babiloni lyali lizinze Yeruzaalemu; Yeremiya omulanzi yali musibe mu luggya lw'abakuumi olw'omu nnyumba ya kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaggye ga kabaka w’e Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lw’omukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu kiseera ekyo eggye lya kabaka w'e Babbulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi; ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, eggye lya kabaka wa Babilooniya lyali lizingizza Yerusaalemu, nga nange nsibiddwa mu luggya lw'olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu biro ebyo eggye lya kabaka w'e Babulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi: ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda.