Jeremiah 32:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakola obubonero obwewuunyisa n'ebikuuno mu nsi y'e Misiri, na kati okyabikola, mu Yisirayeli ne mu bantu bonna, ne weekolera erinnya nga bwe likyali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakola obubonero n’ebikolwa ebyamagero mu Misiri era weeyongedde okubikola leero, wonna mu Isirayiri ne mu bantu bonna era erinnya lyo lyeyongedde okwatiikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Walaga obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri, n'okutuusa leero mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; weekolera erinnya nga leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edda wakola ebyewuunyo n'ebyamagero mu nsi y'e Misiri, era n'oyongera okubikola n'okutuusa kati, mu Yisirayeli ne mu mawanga amalala gonna. Bw'otyo n'omanyibwa kati buli wantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyassaawo obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri ne leero, mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; ne weefunira erinnya nga leero: