Jeremiah 32:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waggya abantu bo Yisirayeli mu nsi y'e Misiri n'obubonero obwewuunyisa n'ebikuuno n'omukono omugolole, n'omukono ogw'amaanyi mu ntiisa ennene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri n’obubonero n’eby’amagero, n’omukono gwo ogw’amaanyi gwe wagolola n’entiisa ey’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wa ggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'ebyewuunyo n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa ennyingi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ebyewuunyo n'ebyamagero ebyatiisa abalabe baffe, wakozesa obuyinza bwo n'amaanyi go, n'oggya abantu bo Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'oggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'obubonero n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa nnyingi;