Jeremiah 32:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabo baayingira ne bagitwala naye tebaagondera ddoboozi lyo, tebaatambulira mu tteeka lyo; bye wabalagira okukola, tebaabikola. Kyewava oleka akabi kano konna kabagwire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baagituukamu ne bagitwala, naye tebaakugondera wadde okugoberera amateeka go, byonna bye wabalagira tebaliiko wadde na kimu kye baakola. Kyewava obaleetako akabi kano konna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bagiyingira ne bagitwala. Naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola. N'olwekyo ky'ovudde obaleetako obubi buno bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe baagiyingiramu ne bagifuna, tebaakwata biragiro byo, wadde okukolera ku by'oyigiriza. Tebaabaako kye bakola ku ebyo bye wabalagira okukola. Kyewava obatuusa ku kuzikirira kuno kwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bayingira ne bagirya; naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola: kyewava obaleetako obubi buno bwonna