Jeremiah 32:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba embibiro bwe zituumiddwa okuzingiza ekibuga, ate olw'okubeera ekitala, enjala ne kawumpuli, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaludeya abakirwanyisa. Bye wayogera biibyo bituukiridde nga naawe wennyini bw'okiraba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba entuumo z’omulabe z’atuumye okuzinda ekibuga okukiwamba n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bw’olaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba entuumo, zituuse mu ekibuga okukiwamba; era olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaladaaya abakirwanyisa; era, laba ebyo bye wayogera bituukiridde; era, laba naawe obirabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abakaludaaya bakoze entuumu okutaayiza ekibuga bakiwambe, era bakirumbye. Olw'olutalo n'enjala era n'endwadde, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gyabwe. Era olaba nga byonna bye wayogera bituukiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba entuumo, zituuse mu kibuga okukimenya; ekibuga n'ekiweebwayo mu mukono gw'Abakalu daaya abalwana nakyo olw'ekitala n’enjala ne kawumpuli: era ebyo by wayogera bituukiridde; era, laba obitunuulidde.