Jeremiah 32:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ate ggwe, ayi Mukama Katonda, oŋŋamba nti ‘Gula ennimiro ne ffeeza, osseewo n'abajulirwa,’ sso ng'ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaludeya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era wadde ng’ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya, ggwe Ayi Mukama Katonda oŋŋambye nti, ‘Toola ffeeza weegulire ennimiro era wabeerewo n’abajulirwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oŋŋambye, ayi Mukama Katonda, nti, “Weegulire ennimiro n'ebintu, era oyite abajulizi; newakubadde nga ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ate, ayi Mukama Katonda, ggwe ondagidde okwegulira ennimiro nga waliwo n'abajulizi, newaakubadde ng'ekibuga kinaatera okuwambibwa Abakaludaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oŋŋambye ai Mukama Katonda, nti Weegulire ennimiro n'ebintu oyite abajulirwa era naye ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.