Jeremiah 32:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nno Omukama kino ky'agamba: Ekibuga kino ŋŋenda kukiwaayo mu mikono gya Abakaludeya ne mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, akikwate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abanaakiwamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mikono gy'Abakaludaaya ne mu mikono gya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era alikiwamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kuwaayo ekibuga kino mu mikono gya Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni, ne mu mikono gya basajja be Abakaludaaya. Bajja kukiwamba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gw'Abakaludaaya mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, era alikimenya: