Jeremiah 32:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakaludeya abalumbye ekibuga kino bajja kukyokya omuliro, bakyokye wamu n'amayumba abantu gye bannyiiriza nga banyookeza Baali obubaani ku busolya bwago, n'okuyiyira balubaale ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, n’amayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era n’okuwaayo ebiweebwayo eby’okunywa eri bakatonda abalala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza omuliro ne bakyokya, era balyokya n'ennyumba, abantu gye baayoterezanga Baali obubaane ku busolya bwazo, era n'ebiweebwayo eby'okunnywa gy'ebyafuukirwanga eri ba katonda abalala, nga bansomooza okunsunguwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era bakyokye omuliro. Era balyokya n'amayumba, abantu ge bansunguwalizaamu nga bootereza lubaale Baali obubaane waggulu ku mayumba ago, era nga bafuka ebyokunywa bye bawaayo eri balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'Abakaludaaya abawanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza ekibuga kino ne bakyokya n’ennyumba ze baayotererezangako waggulu obubaane Baali, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa okunsunguwaza.