Jeremiah 32:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya, kabaka wa Yuda yali amusibidde awo ng'amuvunaana nti: “Lwaki olanga ebyo by'olanga? Ogenda ogamba nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Ekibuga kino ŋŋenda kukiwaayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni akikwate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ng’agamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukiwamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti, “Lwaki olagula n'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikiwamba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeddeekiya kabaka wa Buyudaaya yali ansibye ng'anvunaana okulangirira nti Mukama agambye nti: “Nja kuwaayo ekibuga kino mu mikono gya kabaka wa Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti Kiki ekikulaguza n'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya;