Jeremiah 32:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Yisirayeli n'aba Yuda okuva mu buvubuka bwabwe bulijjo tebalina kirala kye bakola wabula okukola obubi mu maaso gange; ddala abantu ba Yisirayeli, tebalina kirala kya kukola wabula okunnyiiza ne bye bakola n'emikono gyabwe, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu ba Isirayiri ne Yuda bye bakoze bibi byereere mu maaso gange okuva mu buvubuka bwabwe; era ddala abantu ba Isirayiri tebalina kirala kye bakoze wabula okunnyiiza n’ebyo emikono gyabwe gye gikoze, bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda tebalina kye bakoze wabula ebibi ebyereere mu maaso gange okuva mu buto bwabwe; era abaana ba Isiraeri tebalina kye bakoze wabula okunsomooza nga bansunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya okuviira ddala eggwanga lyabwe lwe lyatandikawo, bannyiiza era bansunguwaza olw'ebyo bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda baakakola ebyali ebibi mu maaso gange ebyereere okuva mu buto bwabwe kubanga abaana ba Isiraeri bansunguwaza busunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe, bw'ayogera Mukama.