Jeremiah 32:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kino okuva ku lunaku lwe baakizimba n'okutuusa ku lwa leero, kinnyiiza n'okunsunguwaza, kyennaava nkiggya mu maaso gange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa ne leero, ekibuga kino kindeetedde obusungu bungi n’ekiruyi, noolwekyo nteekwa okukiggya mu maaso gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kibuga kino kyasikuula obusungu bwange n'ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa, okutuusa ne leero; bw'entyo ndikiggya mu maaso gange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu kibuga kino bansunguwaza nnyo okuviira ddala lwe kyazimbibwa. Nsazeewo okukizikiriza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekibuga kino kyaleetanga obusungu bwange n’ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe baakizimba ne leero; nkijjulule okukiggya mu maaso gange: