Jeremiah 32:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bankuba amabega tebantunuulira newandibadde nga nabayigirizanga buli olukedde; tebawuliranga basobole okugunjulwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banvaako ne bankuba amabega mu kifo ky’okuntunuulira; wadde nga nabayigiriza ne nkiddiŋŋana emirundi mingi naye tebaawuliriza wadde okufaayo eri okukangavvulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bankubye enkoona, ne bankweka amaaso; newakubadde nga nnabayigiriza, obutasalako, naye tebaawuliriza basobole okuyiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bandaga nkoona, era newaakubadde nga nabayigirizanga awatali kwosa, naye tebakkiriza kuwuliriza bayige.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bankubye nkoona so si maaso: era newakubadde nga nabayigiriza, nga ngolokoka mu makya ne mbayigiriza; naye tebaawulirizanga okukkiriza okuyiga.