Jeremiah 32:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bassa ebyenyinyalwa byabwe mu Kiggwa okuli erinnya lyange ne balyonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baateekawo ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakole n’emikono, eby’omuzizo mu nnyumba eyitibwa Erinnya lyange ne bagyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba, eyitibwa erinnya lyange okugyonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baateeka n'ebyenyinyalwa mu nnyumba, eyazimbirwa okunsinzirizangamu, ne bagyonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange okugyonoona.