Jeremiah 32:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baazimbira Baali ebifo ebigulumivu mu Kiwonvu Beni-Yinnomu bawongerere eyo Moleki batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro, nze kye sibalagiranga, era ekitanzijanga mu birowoozo okukola ekyenyinyalwa ekyo, baleetere Yuda okugwa mu kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, basaddaake batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro eri Moleki, newaakubadde nga sibalagiranga, wadde okukirowooza mu magezi gange, nti balikola ekintu ekibi ennyo bwe kityo kiviireko Yuda okwonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, balyoke bayisenga batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro, eri Moleki; kye sibalagiranga, so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa abantu ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baazimbira Baali alutaari mu Kiwonvu kya Hinnomu, okutambiranga batabani baabwe ne bawala baabwe eri lubaale Moleki. Sibalagiranga kukola ekyo era sirowoozangako nti bandikoze ekyenyinyalwa ng'ekyo, okukozesa abantu b'omu Buyudaaya ekibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, okuyisa batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro eri Moleki; kye sibalagiranga so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa Yuda.