Jeremiah 32:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ekibuga kino mmwe kye mugamba nti olw'okubeera ekitala, enjala ne kawumpuli kya kuweebwayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ekibuga kino okyogerako nti, Kijja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni lwa kitala, n’enjala, ne kawumpuli.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, ebikwata ku kibuga kino kye mwogerako nti, ‘Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, olw'ekitala, n'enjala ne kawumpuli;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, abantu bagamba nti olutalo, n'enjala, n'endwadde bijja kuweesaayo ekibuga mu mikono gya kabaka wa Babilooniya. Kaakano ŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ekibuga kino kye mwogerako nti Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nti