Jeremiah 32:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ŋŋenda kubakuŋŋaanyaayo eyo mu nsi zonna gye nabagobera olw'obusungu n'obuswandi bwange obungi; ŋŋenda kubazza mu kifo kino, era mbatuuze ntende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde n’obusungu bwange n’ekiruyi eky’amaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye laba, nze ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi; era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mu mirembe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nja kukuŋŋaanya abantu bange okubaggya mu nsi zonna gye nabasaasaanyiza nga mbasunguwalidde nnyo, era nga mbakambuwalidde, mbakomyewo mu kifo kino, mbaleke bakibeeremu mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi: era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mirembe: