Jeremiah 32:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibawa omutima gumu, n'ekkubo limu, bantye ennaku zonna, balyoke babeere bulungi, bo n'abaana baabwe abalibaddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu, bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibawa omutima gumu n'ekiruubirirwa kimu, kwe kunzisangamu ekitiibwa ennaku zonna, balyoke babenga bulungi, bo n'abaana baabwe abaliddawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo: