Jeremiah 32:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya kabaka wa Yuda taliwona mikono gya Bakaludeya, naye aliweebwa mu mikono gya kabaka w'e Babiloni; alyogera naye maaso ku maaso era alimwerabirako ddala n'agage.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gy’Abakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso n’amaaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye aliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, era alimulaba maaso ku maaso;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Zeddeekiya kabaka wa Buyudaaya, talisumattuka Bakaludaaya. Aliweebwayo eri kabaka wa Babilooniya, n'amulabira ddala yennyini, era n'ayogera naye butereevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye talirema kuweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, n'amaaso ge galiraba amaaso g'oyo;