Jeremiah 32:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikola nabo endagaano ey'olubeerera; sirirekayo kubakolera bulungi; era mu mutima gwabwe ndibateekamu okuntya baleme kuddayo kunneebengulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, nga siriddayo kukyuka kuleka kubakola bulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikola nabo endagaano ey'olubeerera, siirekengayo kubakolera birungi. Ndibasobozesa okunzisangamu ekitiibwa, balemenga kunvaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, obutakyuka okubaleka okubakola obulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.