Jeremiah 32:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba: Nga bwe naleetera abantu bano akabi akanene, bwe ntyo era bwe ndibawa ebirungi byonna bye nabagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Nga bwe naleeta akabi kano konna ku bantu bano, era nze ndibawa okukulaakulana kwonna kwe mbasuubizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nga bwe ndeese obubi buno obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nga bwe ntuusizza akabi kano akanene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibawa ebirungi byonna bye nabasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nga bwe ndeese obubi buno bwonna obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza.