Jeremiah 32:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimiro zijja kuddamu okugulibwa mu nsi eno mmwe gye mugamba nti matongo, temuli muntu yadde ekisolo, eweereddwa mu mikono gy'Abakaludeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ennimiro zirigulwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; era eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bagamba nti ensi eno efuuse nga ddungu, nga teriimu bantu, wadde ensolo, era ejja kuweebwayo mu mikono gy'Abakaludaaya. Naye ebibanja binaagulibwanga mu nsi eno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ennimiro zirigulirwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.