Jeremiah 32:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimiro zijja kugulibwa ne ffeeza, n'endagaano zissibweko emikono, zisibibwe, n'abajulirwa bassibwewo mu nsi ya Benyamiini ne mu byalo okwetooloola Yeruzaalemu, mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsozi ne mu Sefela, ne mu bibuga ebiri mu Negevu, kubanga nzija kuzza abasibe, Omukama y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era n’ebiwandiiko eby’obwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune n’ababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga eby’omu nsi ey’ensozi, ne mu bibuga eby’omu nsenyi ne mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bw’ayogera Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu baligula ennimiro n'ebintu, endagaano ne zinassibwangako emikono, ne ziteekebwako n'akabonero ne bayita n'abajulizi mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukkiikkaddyo; kubanga ndizzawo emikisa gyabwe, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibanja binaagulwanga, endagaano ne zissibwangako emikono, ne ziteekebwako n'akabonero nga waliwo n'abajulizi mu kitundu kya Benyamiini, ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemu, ne mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu bibuga eby'omu kitundu eky'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsenyi, ne mu bibuga eby'omu bukiikaddyo. Ndikomyawo abantu mu nsi yaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu baligula ennimiro n'ebintu, ne bawandiika amannya gaabwe ku biwandiike ne babiteekako obubonero ne bayita abajulirwa mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, bw'ayogera Mukama.