Jeremiah 32:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alitwala Zedekiya e Babiloni, gy'alisigala okutuusa lwe ndimujjukira, Omukama y'agamba. Bwe muligeza okulwanyisa Abakaludeya, temuliwangula.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gy’alisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bw’ayogera Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era alitwala Zeddekiya e Babbulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjukira, bw'ayogera Mukama; newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, naye temujja kuwangula.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeddeekiya alitwalibwa e Babilooni, n'abeerayo okutuusa lwe ndimujjukira. Ne bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era alitwala Zeddekiya e Babulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjira, bw'ayogera Mukama: newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, temuliraba kisa.