Jeremiah 32:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kanameli mutabani wa kojjaawo Sallumu ajja kujja gy'oli akugambe nti: “Gula ennimiro yange eri mu Anatoti, kubanga nga bw'oli owooluganda alina obuvunaanyizibwa obw'okununula, ggwe osaana okugigula.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti, ‘Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi, kubanga okuginunula kukwo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Anameli mutabani wa Sallumu kojjaawo, wuuyo ajja gy'oli okukusaba ogule ennimiro ye eri mu Anatooti, kubanga ggwe wooluganda olw'okumpi, asaanidde okugigula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi: kubanga okuginunula kukwo.