Jeremiah 32:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Kanameli omwana wa kojjange n'ajja gye ndi mu luggya lw'ekkomera nga Omukama bwe yali ayogedde, n'aŋŋamba nti: ‘Gula ennimiro yange mu Anatoti mu nsi ya Benyamiini, kubanga ggwe olina obuvunaanyizibwa obw'okugitwala n'obw'okuginunula; gyegulire.’ Nategeera nti kino kigambo kya Mukama;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’ “Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, n'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini, kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; gye gulire ku lulwo.’ Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Anameli n'ajja gye ndi mu luggya, nga Mukama bwe yali agambye, n'ansaba okugula ennimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama, n'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini: kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; weegulire wekka. Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama.