Jeremiah 32:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kwe kugula ku Kanameli omwana wa kojja ennimiro y'e Anatoti, ne mupimira ssente, sekeli za ffeeza kkumi na musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi okuva ku Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu (17).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ngula ennimiro eyo ku Anameli, ne musasula ensimbi, eziweza ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi eri Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu.