Jeremiah 33:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya yali akyassiddwako ekkomo, mu luggya lw'abakuumi, ekigambo ky'Omukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya bwe yali ng’akyali mu kkomera mu luggya lw’omukuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya omulundi ogwokubiri, bwe yali ng'akyasibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyasibiddwa mu kkomera mu luggya lw'olubiri, Mukama n'ampa obubaka bwe nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya omulundi ogw'okubiri, bwe yali ng'akyasibibwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti