Jeremiah 33:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba: ‘Mwogera ku kifo kino nti: “Matongo masa, temuli muntu yadde ekisolo,” naye mu bibuga bya Yuda ne mu mpya za Yeruzaalemu, ebiri amatongo, omutali yadde omuntu oba ekisolo, muliddamu okuwulirwa
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, mu kifo kino kye mwogerako nti, ‘Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo,’ mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise, nga temuli muntu, newakubadde azibeeramu, newakubadde ensolo, muliddamu okuwulirwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Abantu bagamba nti ekifo kino kifuuse ng'eddungu, nga tekiriimu muntu wadde ensolo. Ddala batuufu. Ebibuga bya Buyudaaya, n'enguudo za Yerusaalemu bizise, tebikyabeeramu muntu wadde ensolo. Naye mu bifo ebyo, muliddamu okuwulirwa
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oliboolyawo ne muwulirwa mu kifo kino kye mwogerako nti Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise nga temuli muntu newakubadde azibeeramu, era nga temuli nsolo,