Jeremiah 33:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eddoboozi ery'essanyu n'ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa n'ery'omugole n'amaloboozi g'abo abaleeta mu Kiggwa ky'Omukama ebitambiro eby'okwebaza nga bayimba nti: “ ‘ “Mwebaze Omukama w'Amagye, kubanga Omukama mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Kubanga nzija kuzza abasibe b'ensi eno nga bwe baali mu kusooka.’ Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti, “ ‘ “Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye, kubanga Mukama mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti, Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera; n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndizzawo emikisa mu nsi eno, nga bwe byali olubereberye,” bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amaloboozi ag'essanyu n'okujaguza, n'ebinyumu by'oku mbaga z'obugole. Abantu baliwulirwa nga bayimba, nga bwe baleeta mu Ssinzizo lyange ebirabo eby'okwebaza nga bagamba nti: ‘Mwebaze Mukama Nnannyinimagye kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna.’ Ndizzaawo ebirungi mu nsi eno, nga bwe byali mu kusooka. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera: n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndikomyawo obusibe obw'ensi ng'olubereberye, bw'ayogera Mukama w'eggye.