Jeremiah 33:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Mu kifo kino amatongo, omutali muntu yadde ekisolo, ne mu bibuga bino byonna, mujja kuddamu okubeeramu amalundiro abasumba mwe banaawummulizanga endiga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, ‘Mu kifo kino ekirekeddwa awo omutali bantu wadde ensolo, mu bibuga byakyo byonna nate muliddamu amalundiro ag’abasumba mwe banaawummulizanga ebisibo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu wadde ensolo, era mu bibuga byakyo byonna, muliddamu okubaamu amalundiro, n'olusiisira abasumba mwe bagalamiza ebisibo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Ensi eno efuuse ng'eddungu, nga teriimu bantu wadde ensolo, eriddamu okubaamu amalundiro, abasumba mwe bakuumira amagana gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ne mubeera mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu era nga temuli nsolo, ne mu bibuga byakyo byonna, olusiisira olw'abasumba abagalamiza ebisibo byabwe.