Jeremiah 33:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga eryo Yuda alirokolebwa, ne Yeruzaalemu alituulanga ntende. Lino lye linnya lye balikiyita: 'Mukama bwe Butuukirivu bwaffe'.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ezo Yuda alirokolebwa ne Yerusaalemi alibeera mirembe. Lino lye linnya ly’aliyitibwa nti, Mukama Obutuukirivu bwaffe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ezo Yuda alirokoka, ne Yerusaalemi kirituula mirembe. Era lino lye linnya lye kirituumibwa, nti, ‘Mukama bwe butuukirivu bwaffe.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu balirokolebwa, era baliba mirembe. Era ekibuga ekyo kirituumibwa erinnya ‘Mukama ye atulokola.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku ezo Yuda alirokoka ne Yerusaalemi kirituula mirembe: na lino lye linnya lye kirituumibwa, nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.